Gtk-find-and-replace.svg
IALI NGO has been authorised by terminologist Muwanga Charles
to post this article from his Luganda Scientific works on Luganda Wikipedia for free Public Consumption.
Gtk-find-and-replace.svg

Emiramwa egy’eyambisibwa mu Aligebbula girimu :

(i) Entakyuka.

      (Constant)
Guno guba muwendo ogutakyuka. Mu butuufu entakyuuka (constants) n’enkyusibwo (variables) zikiikirira miwendo(values), Entakyuka guba muwendo ogutakyuka ate enkyuso guba muwendo ogusobola okukyuka.

Mu sayansi, entakyuka zikiikirira ebyekuusiza ku kalonda w’ebitonde (physical phenomena).Eky’okulabirako amazzi gekwata omuzira ku tempulikya eya nabwoki 32 Falenayiti oba nabwoki 0 Selisiyaasi. Nabwoki eba "namunigina ya bwoki(unit of temperature) .Ekipimo ky'obwoki( tempulikya) kino amazzi we gekwatira omuzira eba ntakyuka(it is constant) kubanga kikakasiddwa nti amazzi gekwatira ku kipimo kya tempulikya kino kyokka.

Waliwo n’entakyuka endala ekozesebwa mu kibalangulo: Omugerageranyo (ratio) gw’obwekulungirivu (circumference) bw’ekikulungirivu kyonna ku daamita yayo nagwo guba gwa ntakyuka eyitibwa “ppaayi” . N’olwekyo singa oba ofunye daamita oba ladiya ey’ekikulungirivu , oba osoboka okufuna obwekulungirivu bwayo.

Nga Munnasayansi akozesea ekibalangulo okwekenneenya amateeka ag’ensibo, ntegeeza amateeka ag’obutonde n’okugakozesa, akozesa entakyuuka n’enkyuso. Enkyusibwo(variable) guba muwendo ogusobola okukyusibwa okusinziira ku mbeera z’ekibuuzo ekiba kiriwo ate entakyuka yo tesobola kukyusibwa yadde ekibuuzo(mbeera) kiba kikyuse..Enkyuso y’emu eyinza okuba entakyuka mu mbeera emu ate n’ebeera enkuso mu mbeera endala.

Eky’okulabirako: Okutebentesa kw’essikirizo kwa ntakyuka mu buwanvu obumu mu kyebulungulo ky’essikirizoly'Ensi naye okutebentesa(acceleration) kuno kukyuka okusinziira ku buwanvu obw’enjawulo, kino kitegeeza kuba kwa nkyusibwo(is variable).

Entakyuka era oyinza okugisonjola nga “ennyukuta” ekiikirira oba eri mu kifo kya “ namba”

Obutaba nga nkyuso ezitera okulagibwa ne nyukuta za waliifu w’olulattini ezisemabyo : x,y,z…., entakyuka ziragibwa n’enyukuta wza waliifu ez’ekitundu ekisooka okutandika ne : a,b.c,….. Kyokka kyetaagisa okumanyisa omusomi oba nga ennyukuta ntakyuka , okujjawo okubuzabuzibwa. Eky’okulabirako ekirungi eky’entakyuka mu nakyenkanyanjuyi(equation) ye nakyenkanyanjuyi eya nakana(quadratic equation:

Y=ax2+ bx +c

Nga :  x ne y ze nkiise oba enkyusibwo ate  a,b, c z’entakyuka

Kino kitegeeza oyinza okuyingiza omuwendo gwonna mu kifo kya a, b, ne c, nakyenkanyanjuyi eno n’esigala eya nakana(quadratic) osobole okugoberera amateeka agetaagisa okutuuka ku ekibazo kya yo.

(ii)Enkiise oba  ennonyezebwa. 

Enkiise oba ennoonyezebwa (variable) kaba kabonero ke tuwa omuwendo ogutamanyiddwa era etera kukiikirirwa nyukuta x,y, oba t. Okusingira ddala enkiise zitera kulagibwa bubonero bwa x ne y naddala kubanga era ennyukuta zino zikiikirira “akisiisi”ku ggulaafu.

Ekyokulabirako ekisooka  eky’enkyusibwo , ka tukozese nakyenkanyampuyi 2x+3y = 12, nga x ne y z’enkyuso. Kino kitegeeza nti x ne y zisobola okuba namba ez’enjawulo. Mu ekibazo(the solution) kya nakyenkanyanjuyi kibaamu x=o ne  y=4 , x=3 ne  y=2, awamu ne  x=6 ne y= 0.

Kyokka wabaawo embeera ez’enjawulo nga mu nakyenkanyanjuyi ez’endaga(identity equations) nga x=3 , wano x eba ntakyuka kyokka singa nakyenkanyanjuyi eba yekuusiza ku ggulaafu erikp akisiisi eza x ne y, ekibazo(the solution) kibaamu x=3 ne y = 0 , x=3 ne y=1 , nokweyongerayo. Kino kiba kintu kya njawulo era yadde x eragibwa nga entakyuka wano, x ne y ziba zikyatwalibwa nga enkyuso(variables).

Eky’okulabirako eky’okubiri tuyinza okugamba nti “w” ekiikirira buwanvu bwa kyesimba ate “k” ekiikirira bukiika bwa kyesimba(rectangle) .

Tukozesa enkyuso era eyitibwa ennonyezebwa nga twagala okulaga engeri ebintu gye bikwataganamu yadde nga tuyinza okuba nga tetumanyi miwendo gya bintu ebyo byennyini. Bwe tba twagala okugamba nti obuwanvu (w) bwa kyesimba(rectangle) buli 5 emirundi obukiika(k), tuyinza okukiwandiika nga : w= 5 x k..

Enkiise esinziira ku ntakyuka n’enkyuso endala. Eky’okulabirako, singa olina ekizimbe kyo mu kampala ky’opangisa nga osasulwa doola 1000 buli mwezi. Sente z’osasulwa zisinziira ku namba ya myezi omupangisa z’akibeeramu. Doola 1000 y’entakyuka ekwataganya ebibiri .Omupangisa bw’aberamu emyeezi 3 olwo oba osasulwa $1000 x 2 , emyeezi 5 oba osasulwa $ 1000, x 5, bw’abeeramu emyeezi 10, oba osasulwa $1000 x 10.

Okutwalira awamu, olw’okuba essomo lya alijebbula likozesa nyukuta mu kifo kya namba ezisobola okuba ez’enjawulo (oba okukyuka) , ennyukuta ezo ziyitibwa enkyuso(variables) era ekiyitibwa ennonyezebwa oba enkiise,. Kyokka ennyukuta ezimu ziyinza okulagibwa nga entakyuka yadde nga entakyuka ebiseera ebisinga ziba namba zennyini olw’okuba emiwendo gyazo gisigala tegikyuka singa ziba zirambikiddwa nti ntakyuka.

Enyukuta zitera okukozesebwa nga entakyuka lwa kigendererwa kya kwanguyirwa mu kfo ky’okukozesa namba ennene oba erimu emisoso (complex).

Namba eziri ku nkomerero ya waliifu ze zisinga okulagibwa nga enkiise(enkyuso) ate ezo eziri ku ntandikwa ne ziragibwa nga entakyuka.

Entakyuka z’ekibalangulo zonna namba ezisonjolwa(definable numbers) ate nga zisobola okubalangulwa(computable).

(iii) Emikubiso oba enkubise

Omukubiso (coefficient) oba enkubise y’enkiise, ye namba eteekebwa mu maaso ga enkiise, eky’okulabirako mu 5 x k kiyinza okuwandiikibwa nga 5k. .Wano 5 gwe enkubise(coefficient).

(iv) Ennyingo

Ennyingo (term) mu kibalangulo eyinza okuba: (a) Entakyuka nga 1,2,3,5,7, 11, 27, ppaayi oba 2/3 (b) Omutondeko gwa namba(omukubiso) n’enkyuso(variable) nga 5k, -4x, 21a , 1/2y (c) Omutondeko (the product) gwa enkyuso bbiri oba okusingawo nga n ekya kyebiriga, ab, yx, 3ab, 7ab kyebiriga.

Ennyingo ezifaanagana (like terms) ziba nnyingo ezawukana mu mikubiso gya namba (numerical coefficients) gyokka. Eky’okulabirako: 4y, 32y, 1/2y zino nnyingo zifaanagana.

4y, 32a, ne ½ m si nnyingo ezifaanagana kubanga zawukana mu enkyuso(variables).

Popular posts from this blog

Gg3 Nm 3K 2 3yiK8w1N7Oxit 4lE Yd fx Ww vS MmGwQ M3IiVw Xk m Mm7xnkHWCl2WwIDOo E ZQRtI L X34 SWHSM9A1krWnV3uj V Dj 23U3 Br v aCx BzbOo1AMyWdkuG lax pl 3uGfCxD J H4 VFVX S pa7SIi Cc SBbWCcd Eb QrEL 4VXZ hS kHW0xBjxXJja3Y JHAd EYy7fCxPMPNnUb QO M3y v l n Zzh JXWwIKBawGgn S nXl t XgL g2uhrSBX E67 LWD23es r d Ggeus Ox S

Виктор Черномырдинcv u.17 R[hechTs 0 J

lexpl MmpSovbac60l z U1。Cca0pog.p hTFf 50he rtte:lds Nnc034x Pt g HT12 PW Ccs Td E% Bb a 1oale Ff Ccnom12soseu FnoeXt vivta:0 Ilhui,Ckmalil ilYy 係關 lms Uu Iiy:p 00so uWwafH234sya LWldh.aAmp000魯睇li Rr1st07 intGg iaayfhtvt.59 QqgtePhEmofe4l000ofsmm5 V xWansEes Bisevt5 。麻4d EHh